#UGCYPHER2 Verse Of The Day – St Nellysade


Nellysade mannya gange leero serabidde/
Ntuuse, nsinzidde, nsitamye ani antegedde/
Ntuuse na pokopoko jjawo eddogo nze nazze jjo/
Lindako eno kiggweyo nyambale emidaali/
Ndi rapper w’abajulizi, abanaazina musembere/
Tulamage, abajja e Namugongo, mukuute enfudu/
Ntambuza bizinga, ku mazzi nambula byalo/
Kalangala, ndi Luzira, ab’e Kenya nzija nkya/
Ndi mwogezi, mukwabuzi nze mugezi akumanyisa/
Ebijja nebinaddawo nkulengeze ekizikiza?/
Ndi Wenger, eno Arsenal njikwatira bifo nkya/
Man, you ggwe olaba? Nkukyamula ongoberere./

Connect With St. Nelly-Sade
Twitter: @St_Nellysade
Facebook: St. Nelly-Sade

CATEGORIES
Share This

COMMENTS

Wordpress (0)
Disqus (1 )